Psalms 37

Zabbuli ya Dawudi.

1 aTeweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 bKubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

3 cWeesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 dSanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

5 eBy’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 fAnaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

7 gSiriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

8 hTonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 iKubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 jWanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 kNaye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12 lAbabi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 mNaye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 nAbabi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 oNaye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 pEbitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 qkubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 rEnnaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 sNaye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 tAbabi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 uAbo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23 v Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 wNe bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25 xNnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 yBagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27 zMuve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 aaKubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 abAbatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 acAmateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.

32 adOmubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 aenaye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34 afLindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35 agNalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 ahnaye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37 aiTunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 ajNaye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39 akObulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 al Mukama abayamba n’abalokola;
abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
kubanga gy’ali gye baddukira.
Copyright information for LugEEEE